Proverbs 27

Amagezi aga Leero n’Ebiseera eby’omu mu Maaso

1 aTeweenyumirizanga mu bya nkya,
kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi.

2 bLeka omulala akutenderezenga so si kamwa ko ggwe,
omuntu omulala so si mimwa gyo.

3 cEjjinja lizitowa, n’omusenyu muzito,
naye obulumbaganyi bw’omusirusiru businga byonna okuzitowa.

4 dObusungu bwa ttima, n’ekiruyi kifugira ddala nnyo,
naye ani ayinza okwolekera amaaso g’obuggya?

5Okunenya mu lwatu,
kisinga okwagala okukisibbwa.

6 eOkunywegera kw’omulabe kwandiba okungi,
naye ebiwundu by’okunenya kw’owoomukwano tebitiisa.

7Oyo akkuse akyawa omubisi gw’enjuki,
naye eri omuyala n’ekikaawa kiba kiwoomerera.

8 fNg’akanyonyi akadduka mu kisu kyako,
bw’atyo bw’abeera omuntu abula mu maka ge.

9 gEbyakaloosa bisanyusa omutima,
n’obuwoomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe butyo bwe buvaamu okubuulirira okw’amazima.

10 hMukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga,
olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana.
Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.

11 iBeeranga n’amagezi mwana wange, osanyusenga omutima gwange,
ndyoke nyanukule oyo yenna ansekerera.

12 jOmuntu omutegeevu alaba akabenje ne yeekweka,
naye abatalina magezi batambula butambuzi ne bagwa mu kabi.

13 kTwalanga ekyambalo ky’oyo eyeeyimirira gw’atamanyi,
era kwatanga eky’oyo eyeeyimirira omukazi omwenzi kye yeeyamye.

14Okulamusa ku muliraanwa wo mu makya ennyo, ng’oleekaana,
obanga amukolimidde.

15 lOmukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata,
ku lunaku olw’enkuba ennyingi.
16Okumuziyiza obanga aziyiza empewo oba
ng’anyweza omuzigo mu ngalo.

17Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma,
n’omuntu bw’abangula muntu munne.

18 mBuli alabirira omutiini alirya ku bibala byagwo,
n’oyo aweereza mukama we alissibwamu ekitiibwa.

19Ng’amazzi bwe galaga omuntu bw’afaanana mu maaso,
bwe gutyo omutima gw’omuntu bwe gulaga omuntu bw’afaanana.

20 nAmagombe ne ggeyeena tebikkuta,
n’amaaso g’abantu nago bwe gatyo tegakkuta.

21 oEntamu erongoosa ya ffeeza n’ekikoomi kikola ku zaabu,
naye omuntu ekimugezesa kutenderezebwa.

22Ne bw’osekula omusirusiru mu kinu,
nga bw’osekula emmere y’empeke mu kinu,
obusirusiru bwe tobumuggyaamu.

23 pOkakasanga nti omanyi bulungi embeera z’ekisibo kyo,
ossangayo omwoyo ku ggana lyo.
24 qKubanga eby’obugagga tebibeerera mirembe gyonna,
n’engule tebeerera mirembe gyonna.
25Ng’omuddo gw’ensolo omukulu gumaze okusalibwawo, ng’omutoototo gutandise okusibukawo,
nga n’omuddo ogw’omu busozi guleeteddwa,
26abaana b’endiga balikuwa engoye ez’okwambala,
n’embuzi ziritundibwa ne zivaamu ensimbi.
27Olibeera n’amata mangi g’onoggyanga mu mbuzi, okukuliisa ggwe n’ab’omu nnyumba yo,
n’okuliisa abaweereza bo abawala.
Copyright information for LugEEEE